Buli eyakiika mu CHAN wa kuwebwa obukadde bwa shs mwenda.

0

Ekibiina ekiddukanya omupiira mu Uganda ekya FUFA, kikakasizza nti buli muzannyi wa Uganda Cranes eyabadde ku ttiimu eyakiise mu mpaka za Chan, agenda kuwebwa dollar za America ensimbi 2500 buli omu, mu za Uganda obukadde buli mu mwenda.

President wa FUFA, Eng Moses Magogo, yayanjudde ensimbi zino ku kijjulo ekitegekeddwa FUFA okwaniriza ttiimu eno okuva mu mpaka za Chan ezikyagenda mu maaso mu Algeria.

Eng Moses Magogo agambye nti buli muzannyi agenda kufuna ensimbi za doola 2500 nga kwatadde nabakungu bonna ababadde ku ttiimu eno.

Moses Magogo agambye nti ku mulundi guno, Uganda Cranes lwesoose okukola obulungi mu mpaka za CHAN ate nga yabadde ne ttiimu zikirimaanyi mu kibinja.

Uganda Cranes yakutte ekifo kyakusatu mu kibinja B nobubonero 4 era yabuseeyo n’emitwalo 30 egya doola.

Uganda Cranes ekiise emirundi 6 ku mirundi 7 empaka za Chan nga zitegekebwa, kyokka emirundi gyonna tevangako mu kibinja.

Mu ngeri yeemu Uganda esuubira okufuna omutemwa gwa shs akawumbi kamu n’obukadde 200, okuva mu CAF olw’okukwata ekifo ekyokusatu mu kibinja.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *