Golola alangiridde okuvuganya ku ntebe y’obwapulezidenti bw’ensambaggere.

0

Golola bino abirangiridde mu lukiiko ekibiina lwe kitegese leero ku Lwokubiri olulubiridde okutema empenda ku ngeri gye  bagenda okugya omuzannyo guno mu ddubi.

Olukiiko luno lutudde ku ‘Food Court Restaurant’ mu Kampala.

Golola agamba kye kiseera akwate mu kintu ky’atuuyanidde obulamu bwe bwonna kuba bangi abakulembeddeko omuzannyo guno babayiyeeyo nga bakulembeza kimu kunoonyeza mbuto zaabwe kyakulya.

Golola

Mu lutuula luno yoomu ku bantu 13 abalondeddwa ku kakiiko ak’ekiseera okufuga ensambaggere okutuusa mu May w’omwaka guno lwe bagenda okulonda.

Mu balala abateereddwa ku kakiiko k’ekiseera kuliko; Titus Tugume naye omuzannyi w’ensambaggere, Sadat Yiga omutendesi wa ttiimu y’eggwanga, ddifiri Charles Mugoya, Khalid Tamale eyaliko omuwanika, Maxwell Ogwang, Eddie Gombya eyaliko ssabawandiisi w’ekibiina n’abalala.

Golola akwatiridde ensambaggere emyaka egisoba mu 15 ng’ayita mu kwogra ebigambo ebikankana ekimu ku bimuyambye okutumbula omuzannyo guno.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *