Ab’okubaka bakoze enkyukakyuka mu liigi yaabwe.

0

Akakiiko akategeka liigi y’eggwanga ey’omuzannyo gw’okubaka eya National Netball Super league kongedde okuteeka ebirungo mu liigi  nga lawundi eno ey’okubiri abalabi emipiira egimu baakujootera ku bitaala.

Akulira akakiiko akategeka liigi, Micheal Kakande ategeezezza nti enteekateeka eno yalina kutandika mu kitundu kya liigi ekisooka wabula ne batasobola. Okusinziira ku kugezesa kwe baakola  mu kitundu ekisooka, bamativu nti ku mulundi guno bano baakukituukiriza.

“Ekigendererwa ky’okuzannya emipiira ekiro k ubitaala kwe kuwa omukisa abantu baffe abakola okulaba ku liigi kuba baba tebasobola kujja misana.

Tufuba nga akakiiko akategesi okulaba nga liigi tugitwala ku ddaala eriddako era w’enaggweera mmanyi nga ejja kuba nga yeemu kw’ezo  ezisinga okuba ku mulembe mu buvanjuba bwa Africa ne Africa yonna okutwaliza awamu,” Kakande bwe yakakasizza. Ku mulundi guno n’ebisaawe awagenda okuzannyirwa liigi byongeddwako okuva ku bisaawe bisatu okutuuka ku bina nga kati ekisaawe kya makomera e Luzira nakyo kyatugekerwamu emipiira. Mu kusooka ekisaawe kya Kamwokya, Bombo ne Busia bye byokka ebibadde n’ebisaanyizo ebitegekerwamu liigi.

Kakande annyonnyodde nti abakulira eby’emizannyo e Luzira baali baasabwa okukola enkyukakyuka mu kisaawe era nga baazituukiriza nga ye nsonga lwaki ku mulundi guno kyayongeddwa kw’ebyo ebigenda okuzannyibwa mu liigi.

Rosette Kaala, akulira abakommonsi baffirimbi mu liigi naye ategeezezza nga bw’atasuubira  kkiraabu kwemulugunya nnyo ku mutindo gwa baddiifiri kuba badiifiri be balina batendeka ekimala nga n’ensobi ezaakolwa mu lawundi ya liigi esooka nazo baazitunulamu. Kaala mugumu nti bano baakwolesa omutindo ogw’awaggulu.

Liigi eddamu ku Lwakusatu lwa wiiki ejja ng’ennaku z’omwezi 18 n’emipiira 4 nga KCCA abakulembedde liigi  baggulawo ne  Busia Greater Lions, Police ettunke ne Prisons, UPDF ne UCU ate UgX Luwero ettunke ne Africa Renewal University ng’emipiira gyonna gyakubeera ku kisaawe kyamakomera e Luzira mu maka ga Prisons

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *