She Cranes egenda Barbados kwetegekera za World Netball Cup.

0

MU kaweefube w’okulaba nga She Cranes (ttiimu y’eggwanga ey’okubaka) yeetegekera empaka z’ensi yonna omwaka guno, ekibiina ekifuga omuzannyo guno kiri ku muyiggo gwa bukadde 420 okwetaba mu nsiike ez’omukwano ssatu ne Barbados.

Kino kiddiridde ekibiina ekitwala okubaka mu Barbados okukakasa She Cranes bw’erina okubakyalira wakati wa March 4 ne 6, 2023 okuzannyamu ez’omukwano oluvannyuma lw’enteeseganya ezibaddewo wakati w’amawanga gombi okutuuka ku nzikiriziganya.

She Cranes eri mukaseera kazibu oluvannyuma lw’okuviibwako abazannyi empagiluwaga okuli; Jesca Achan, Shaffie Nalwanja, Joan Nampungu, Stella Oyella yeegasse ku Strathclyde Sirens NC eya Bungereza nga talima kambugu na kibiina kya kubaka, kapiteeni Peace Proscovia obuvune bumutawaanya, omutendesi Fred Mugerwa Tabale yeetaaga okuziba ebituli bino.

Francis Banya akulira eby’emirimu mu kibiina ky’okubaka mu ggwanga yakakasizza nti oluvannyuma lwa Barbados yaakwongera okufuna ez’omukwano endala n’amawanga amalala ge bakyayogerezeganya nago nga World cup tanatuuka,” Banya bwe yategeezezza.

Omutendesi Mugerwa yasabye ekibiina ky’okubaka kikole ekisoboka okuteeka ttiimu mu nkambi mu bwangu kimuwe obudde obumala okuzimba ttiimu kabiriiti eneewanirira erinnya lya Uganda mu muzannyo guno n’okutangaaza emikisa gy’okulinnya mu nsengeka.

Mu 2018, She Cranes bwe yali yeetegekera emizannyo gya Commonwealth egyali mu Gold Coast ekya Australia, yazannyamu ez’omukwano ssatu ne Barbados, n’ewangulako bbiri (48-40 ne 46-28) ate n’ekubwa (42-38). Wabula jjuuzi bw’ebadde era egenda mu gya Commonwealth mu kibuga Birmingham, Uganda yamezze Barbados (84-31) mu gw’omukwano.

Ez’ensi yonna zaakuzannyibwa wakati wa July 28 ne August 6, 2023 mu kibuga Cape Town ekya South Africa. Uganda eri mu kibinja D omuli; New Zealand, Trinidad and Tobago ne Singapore. Ate Barbados ya kibinja B omuli; Bungereza, Malawi, ne Scotland.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *