Embeera y’ekisaawe ekaabya aba Katwe United.

0

Abakungu abaddukanya ttiimu ya Katwe United n’abakulembeze mu muluka gw’e Katwe bekkokkodde kasasiro ayitiridde mu kisaawe kya Katwe Market ekibalemesezza n’okuzannya emipiira egimu gye bakyaliza mu kisaawe kino.

Ttiimu eno ya mubaka wa Makindye West mu Palamenti, Allan Ssewanyana, mu kaseera kano, ali mu kkomera.

Bano bagamba oluvannyuma lw’emipiira okuyimirizibwa mu biseera by’omuggalo gwa COVID-19, ekisaawe baatandika okukikoleramu emirimu emirala omuli okusuubuliramu ebirime nga ne mmotoka ezikozesebwa zireka ebinnya mu kisaawe nga kuno kw’ogatta abatundiramu enseenene ne ffene ne balekamu kasasiro.

Katwe United.

David Kalema omwogezi wa Katwe United yategeezezza nti, “Twakalemererwa okuzannya emipiira esatu olw’embeera y’ekisaawe okujjula kasasiro nga n’enkuba bw’etonnya, tetusobola kukozesa kifo kino olw’akaseerezi. Mu kaseera kano tulina emipiira ebiri gye tutanazannya olw’embeera y’ekisaawe.

Ali Ssemakadde, ssentebe w’abawagizi ba Katwe United yagambye nti ekisaawe kyafuukira ddala akatale era kibasumbuwa okutegekeramu omupiira gwonna.

 Bino we byabeereddewo nga kkansala w’omuluka gwa Katwe I, Michael Meere ategekeddewo omupiira oguggulawo omwaka wakati wa Lufula FC ne Buli Ggwanga FC. Omupiira guno gwalemaganye (1-1) mu 90, wabula Lufula n’ewangula (4-2) mu peneti.

Omuwanguzi yaweereddwa sseddume w’ente n’ekikopo ate owookubiri yafunye omujoozi n’omupiira.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *