Micho asunsuddemu abasambi 23 abagenda okuzannyira Uganda mu za chan.

0

Omutendesi we ggwanga erya Uganda ku ttiiimu ya basajja esamba ogwebigere milutin sredojevic “micho” asunsuddemu abazannyi 23 kwabo 26 beyangenda nabo okweteekerateekera empaka za chan.

Empaka za chan zakutojjera mu ggwanga erya Algeria okuva nga 13/01 -04/02 2023 era nga amawanga 18 okwetoloola ssemazinga Africa gakuwakanya mu mpaka zino ezigenda okuzannyibwa omulundi ogwomusanvu. Uganda eri mu kibinja b omuli dr congo, ivory coast wamu ne Senegal. Akadde kano Uganda eri mu ggwanga lya Tunisia jeesambidde emipiira egyokwegezaamu okuli ogwa sudan (2-2) ne Cameroon (1-1) wamu ne mali (0-0) nga emipiira gyonna ejikozeemu maliri .

Uganda yaakuva mu Tunisia ku lwokusatu olwo eyolekere ekibuga annaba mu Algeria wenakola enkambi nga bwezannya emipiira gya chan. Guno gugenda kubeera mulundi gwa mukaaga nga Uganda ezannya mu chan, nga yeetabye mu mpaka zino mu 2011, 2014, 2016, 2018 wamu ne 2020.

Abazannyi 23 micho basigaza ku ttiimu beebano.

Abakwasi Ba Goolo: Nafian Alionzi (Ura Fc), Joel Mutakubwa (Gaddafi Fc), Jack Komakech (Vipers Sc)

Abazibizi: Ashraf Mandela (Vipers Sc), Geofrey Wasswa (Kcca Fc), Gift Fred (Sc Villa), Hillary Mukundane  (Vipers Sc), Isa Mubiru (Vipers Sc), James Begisa (Ura Fc), Derrick Ndahiro (Ura Fc), Keneth Semakula (Sc Villa)

Abawuwuutanyi: Marvin Youngman (Vipers Sc), Abdu Karim Watambala (Vipers Sc), Moses Waiswa (Kcca Fc)

Abateebi: Milton Kariisa (Vipers Sc), Ibrahim Orit (Vipers Sc), Travis Mutyaba (Sc Villa), Moses Aliro (Wakiso Giants), Roggers Kassim Matto (Kcca Fc), Bright Anukani (Vipers Sc), Titus Sematimba (Wakiso Giants), Frank Sebuufu (Wakiso Giants) Nelson Senkatuka ( Solito Bright Stars Fc)

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *