Erinnya lya Ronaldo liddabuludde eggwanga lya Saudi arabia ne al nassr.

0

Omusambi wo mupiira nakinku Cristiano Ronaldo 37, jebuvuddeko yatwaliddwa ttiimu eya al nassr ey’omuggwanga erya Saudi arabia mu ndagaano ewezza obukadde obwa yuro 200 mu myaka ebiri. Wabula wadde nga al nassr yatadde sente zino mu Ronaldo, teyejjusa kubanga erinnya omusambi Ronaldo lyeyakola limazze okuddabulula eggwanga lya Saudi arabia wamu ne ttiimu ya al nassr nga yo.

Saudi arabia emazze ebbanga nga evumirirwa olwokutyobola eddembe ly’obuntu naddala okuva mu mwaka gwa 2018 wewaaliwo okutta munnamawulire jamal khashoggi n’olutalo eggwanga lya Saudi arabia lwelwakunjawo mu 2015. Eggwanga erya Saudi arabia libadde lisosolebwa nnyo mu byemizannyo okwetoloola ensi yonna wabula nga okufuna Ronaldo mu ggwanga lyaabwe kituunze nnyo mu byemizannyo.

Eggwanga lya Saudi arabia lyafunye okugobererwa okukyasinze mu mupiira nga nemitimbagano ejja tiivi ejisinga gyasabye dda olukusa okulaga emipiira egya liigi eno. Ba nagagga okuva mu ggwanga lya Saudi arabia bazinzeeko  kirabbu ku bulaaya mu mawanga ga bungereza (Newcastle, Manchester city) ne france (psg) era nga bavujjirira mu sente basobole okutundirako omupiira ogwo mu ggwanga lyaabwe.Ronaldo era yaweereddwa okubeera omukise w’omupiira gwa Saudi arabia mu mawanga amalala ne ku bulaaya.

Ku ludda olwa al nassr, Ronaldo emijoozi gye gyonna jatuunze nejigwawo ate nga banji baabadde bakyajjagala nga nebannansi okuva mu mawanga nga misiri ne china bonna baaguze emijoozi jino mu bungi.

Emitimbagano gya ttiimu ya al nassr nagyo gyalinye nga yinsitagulaamu yalinnye okuva ku 800,000 okutuuka ku bantu 8,900,000 nga kati ttiimu eno esinga inter milan, everton, Napoli, westham, beskitas n’endala nnyinji okugobererwa ku yinsitagulaamu.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *