Uganda Cranes erumbye Mali no bossungu, eyagala kwesasuza.

0

Mu 2016, Cranes teyamatira nga bakola amaliri (2-2) oluvannyuma lw’eyali Kapiteeni Farouk Miya ne ggoolokippa Ismail Watenga okufuna obuvune nga Uganda ekulembedde (2-1) ezaateebebwa Joseph Ochaya ne penati ya Miya mu kitundu ky’omuzannyo ekyokubiri.

Mathias Kigonya yasikira Watenga ate Muzamir Mutyaba n’adda mu kya Miya wabula okufuluma kw’ababiri bano kw’awa Mali amaanyi n’enfuna ggoolo ekyenkanyi mu kitundu ekyokubiri.

Leero (Ssande) Uganda Cranes ey’abagukyangira awaka bazzeemu okusisinkana Mali mu nsiike ey’omukwano wakati nga beetegekera empaka z’ekikopo kya CHAN ezitandika wiiki ejja (January 13) mu Algeria.

Ku Lwokuna Uganda y’akoze amaliri ga (2-2) ne Cameroon ate ku Lwokubiri era yakola (1-1) ne Sudan. Eno y’ensiike yaabwe esembayo mu z’okwegezaamu okulaba ng’omutendesi Milutin ‘Micho’ Sredojevic awagala abazannyi be.

2021 mu z’okusunsulamu amawanga agaali gagenda okwetaba mu World Cup eyaakaggwa e Qatar, Uganda yakola amaliri ne Mali (0-0) ate mu gw’okudding’ana, Mali n’ewangula (1-0).

Guno gwe mukisa Uganda gw’erina okwesasuza Mali kigiyambe okuwa abawagizi ekifaananyi ekituufu nti basobola okuva mu kibinja kya CHAN atandika wiiki ejja (Janaury 13, akomekkerezebwe February 4).

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *