Abamu ku bazannyi ba Lukanga Boxing Club nga balaga emidaali gyaabwe. Ekif-FRED KISEKKA

Lukanga yeeriisizza nkuuli mu mpaka za National Intermediates Boxing Championship ez’omwaka guno.

Empaka zino zimaze ebbanga nga ziyindira e Lugogo mu MTN Arena nga zaakomekerezeddwa ku wiikendi.

Kiraabu 35 ze zeetabye mu mpaka zino ku mitendera egy’enjawulo okwabadde Juniors, Youths ne Elites.

Okusitukira mu kikopo kino Lukanga yafunye obubonero 85 n’eddirirwa Sparks ku 50, COBAP Boxing Club mu kyokusatu ku 42, UPDF 36 ne East Coast eyamalidde mu kyokutaano ku 24.

Don King Lukanga nnannyini Lukanga Boxing Club yaweze bwe bakyayongera okufufumya kiraabu endala nti era kino kikyali kituuza.

Moses Muhangi, pulezidenti wa UBF, ekibiina ekitwala ebikonde mu ggwanga eyabaddewo ng’empaka zikomekkerezebwa, yatenderezza omutindo ogwayoleseddwa kiraabu n’abazannyi.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *