FIFA World cup: Morocco ekyalwana zikomewo mu Africa

0

Ng’esigadde ennaku 2 okutuuka ku mpaka zómupiira ogwébigere ogwébigere ezisinga ettuttumu munsi yonna eza FIFA World Cup ezigenda okubeera e Qatar okuva ku Sunday eno nga ennaku zómwezi 20, empaka zino zakategekebwako mu  Africa omulundi gumu gwokka.

Empaka zómulundi guno zigenda kubeera za mulundi gwa 22, zatandika mu 1930 era zaazannyibwa mu Uruguay.

South Africa yokka yeyakazitegekako ku lukalu lwaAfrica mu 2010.

Africa okufuna omukisa ogutegeka empaka zino, kyava ku kusalawo kwékibiina ekiddukanya omupiira munsi yonna ekya FIFA, okutandika okutambuza empaka zino ku semazinga ezenjawulo.

Ekirowoozo kino kyasalibwawo mu ttabamiruka wa FIFA eyatuula mu kibuga ekikulu ekya Argentina, Buenos Aires nga 07/07/2001 era abakulu ne bakaanya batandikire ku ssemazinga Africa némpaka za 2010.

Olwo olukiiko lwa FIFA olwókutiko nga 23/09/2002, basalawo nti ensi za Africa zokka ze ziritekamu okusaba kwókutegeka empaka zino.

Nigeria yénsi ya Africa eyasooka okuteekamu okusaba kwókutegeka empaka zino mu January 2003, era yasaba okutegeka empaka zino nga bakolagana n’amawanga amalala 3 okuli Benin, Ghana ne Togo.

Wabula president wa FIFA ebiseera ebyo Sepp Blatter yawakanya ekya Nigeria okutegeka nénsi endala.

Oluvanyuma lwa FIFA okuwakanya enteekateeka ey’okutegeka empaka ng’amawanga gegasse , Libya ne Tunisia nabo bawanduka mu kuvuganya.

South Afriaca yawangula akalulu kano era yamegga Morocco ku bululu 14 ate Morocco yafuna obululu 10 ate Misiri teyafunayo.

Empaka zómulundi guno ziri Qatar era zazeeyo ku semazinga wa Asia omulundi ogwókubiri, nga zasooka kutegekebwayo mu 2002 e South Korea ne Japan.

Qatar okutuuka ku buwanguzi buno yamegga America.

Wabula America, Mexico ne Canada baalondebwa okutegeka empaka eziddako mu 2026 era bamegga Morocco ku bululu 134 ate Morocco yafuna obululu 65.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *