Omutendesi Tusubira alaajana lwa bbula lya kisaawe.

0

Omutendesi Boban Fredricks Tusubira.

Omutendesi wa Namukadde Nsambya FC ,Boban Fredricks Tusubira alaajanye ng’agamba ekibaviirako okukola obubi kya butaba maka ga nkalakkalira we bayinza kutendekebwa.

Bano mu mipiira esatu gye baakazannya mu kibinja ekyokusatu ekya ligyoni baakubiddwanu ebiri nga gyonna gya 1-0 ng’ogwaggulirawo ddala,Ntinda United yabalumba waka olwo Black Stars n’ebakubira ku bugenyi e Kanyanya .Wabula baawangudde KJT (1-0)awaka.

Ttiimu ya Namukadde Nsambya eyakubiddwa mu gyaguddewo egya Kampala ligyonolo.

Tusuubira agamba,’’Tetukyatendekebwa nga ttiimu,nga kino kiva ku kuba nti tetukyalina maka ga nkalakkalira we tusobola kukung’aanibwa ,ekimalamu abasambi amaanyi.’’

Namukadde Nsambya yali ekyaliza ku kisaawe kye Nsambya mu Miti mu Zooni ya Gogonya I,wabula nga baakikubako ekibaati ,nga kati oluusi bakozesa kya ssomero lya St.Peter’s SS e Nsambya.

‘’Ekisaawe ky’essomero baakituwamu ennaku bbiri okuli Olwokusatu ng’ate kizibu nnyo okukozesa mu bujjuvu kuba mubeera mutandise okutendekebwa nga n’abayizi bajja ng’ate toyinza kubagobamu kuba be bannannyini kyo,’’Tusuubira bwa’agamba.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *