Mu mpaka z’okuwalampa ensozi Uganda yeeriisizza nkuuli.

0

Ttiimu y’eggwanga ey’abaddusi abawalampa ensozi yeeriisizza nkuuli mu mpaka z’ensi yonna ez’okuwalampa ensozi eza World Mountain Running Championships ezaabadde mu kibuga Chiang Mai ekya Thailand.

Samuel Kibet ye yawangudde omutendera gw’abasajja bakafulu ogwa kiromita 10 nga yaziddukidde eddakiika 40:02 nga y’addiriddwa Munnakenya Patrick Kipngeno.

Munayuganda omulala eyabadde mu nsiike Timothy Toroitich yamalidde mu kyakusatu nga yaddukidde eddakiika 40:26 n’awangula omudaali ogw’ekikomo nga Leonard Chemonges yamalidde mu kyakuna ekyayambye Uganda okuwangula omudaali ogwa zaabu ogwa ttiimu.

Mu mutendera gw’abakazi,Munnayuganda Rebecca Cheptegei ye yaguwangudde nga yaddukidde eddakiika 46:25 nga Annet Chelangat yamalidde mu kyakubiri mu ddakiika 46:52.Munnayuganda omulala Rispa Cherop eyabadde mu mpaka zino teyamazeeko bwetyo Uganda n’etwala feeza mu kifo ky’okusitukira mu mudaali gwa zaabu gwe yabadde erwanira.

Mu mutendera gwa bamusaayi muto abasajja nagwo gwawanguddwa Uganda nga  bawangudde zaabu,feeza n’ekikomp.Pulezidenti wa UAF,Dominic Otucet yategeezezza nga bano bwe balina ebiseera by’omu maaso.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *