Engeri gye bapangamu fayinola ya Buddu ne Ssingo.

Oluvannyuma lw’emipiira gy’oluzannya olusooka olwa ‘Semi final’ mu mpaka z’Amasaza ga Buganda okusambibwa ku Ssande,nga buli ttiimu enoonya obuwanguzi okusobola okuba n’omukisa mu luzannya olw’okudding’ana,Endiba ekuleetedde engeri akakiiko akafuga empaka zino gye kapangamu fayinolo ya Buddu ne Singo.

Tageti y’akakiiko k’Amasaza kwe kutuusa amasaza 2 agasinga okubeera n’abawagizi abangi ku fayinolo bajjuze ekisaawe bo bayoole ssente.

BUDDU YALINA OKUSAMBA SSINGO; Fikisica eyasooka yali eraga nga Buddu egenda kusamba Ssingo ate Busiro esambye Bulemeezi ku luzannya lwa ‘semi final’,wabula akalulu kaakyusiddwa ng’abakungu battiimu ennya ezaatuuse ku ‘semi final’ okuleeta ekiteeso nti tetusobola kwekwata kubanga twali ffenna mu bibinja.

Ekirowoozo akakiiko kaakiguze,okukkakkana nga bazzeemu okukwata obululu era nga Buddu egenda kukwata Bulemeezi ate Ssingo ekwata Busiro.

TTIIMU Z’ABBYE KABAKA?; Mu ngeri y’emu ttiimu okuli Ssingo ebanjibwa emitwalo 20,Gomba kakadde kamu,Busiro emitwalo 25 ne Mawokota akakadde kamu ez’ebitundu bitaano ku 100 ku ssente buli ttiimu zeesolooza ku mulyango ng’ekyazizza awaka,kyokka ssente ezo bakyagaanye okuzisasula.Ze zimu ku ziyambako emirimu gy’Obwakabaka.

AMATEEKA AMAKAMBWE AGALEETEDDWA; Akakiiko kaleese amateeka amapya ku luzannya luno era makambwe.

1.EMMUNDU MU KISAAWE;Tewali musirikale akkirizibwa kulaga mmundu ye munda mu kisaawe wabula alina okubeera ku sayidi y’abawagizi nga yeetegereza ebigenda mu maaso.

2.AMBULENSI;Tewali mupiira kutandika nga tewali ambulensi mu kisaawe esobola okuyambako abazannyi singa bafuna obuzibu ku bulamu bwabwe ng’ekyali ku Christian –Eriksen mu Bungereza.

3.ABAKUUMI; Omupiira tegulina kutandika ng’abakuumi ‘stewards’ mu kisaawe nga tebalimu okusobola okukuuma abawagizi naddala abatandika effujjo ne bakyankalanya emipiira.

BUSIRO BAYOLEKEDDE OKUSAMBIRA KU ‘NEUTRAL GROUND’; Singa ttiimu ya Busiro eremwa okukola ku butimba obuziyiza abawagizi okuyingira ekisaawe ‘perimeter fence’ n’okukola ku kifo ttiimu ekyadde weetuula,bandizanyira omupiira gwabwe ogw’okudding’ana ku kisaawe ekirala ekitali ky’e Sentema.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *