Premier League;  Lwaki Haaland afuuse ensonga?

0

Haalad ateebye ggoolo 20 n’omusobyo mu Bulaaya mu sizoni nnya ez’omuddiringa’anwa ekitegeeza si mawulire okuba ng’ali ku ffoomu.

  • Musizoni ya 2019/2020,yateeba ggoolo 44 mu mipiira 40 .
  • Mu sizoni ya 2020/2021, yateeba ggoolo 41 mu mipiira 41.
  • Musizoni ya 2021/2022 ateebye ggoolo 29 mu mipiira 30.
  • Mu sizoni ya 2022/2023,yaakateeba ggoolo 20 mu mipiira 13.
  • Ensonga endala lwaki Haaland afuuse omuzibu,kwekuba ng’ateebye ggoolo 134 mu mipiira 124.

LIKODI EZAAKOLEDDWA:

  1. Kevin De Bruyne yafuuse ssita wa Man City ekyasinze okukola asisiti bwe yawezezza 94 n’amenyawo likodi ya David Silva eya 93.
  2. Harry Kane ye musambi asoose okubeera n’omukono mu ggoolo 30 n’omusobyo mu Premier League mu 2022 (Yaakasamba emipiira 30,ateebye ggoolo 31 n’akola asisiti 9.
  3. Haaland yaakateeba mu mipiira gya Premier League musanvu egy’omuddiring’anwa Newcastle ggoolo (1),Crystal Palace (3),Nottingham (3),Aston Villa (1), Wolves (1),Man Utd (3) ne Southampton (1)
  4. Haaland ye musambi asinga okuteebera City ggoolo mu 2022/2023 mu Pulimiya,ziri ggoolo 15 mu mipiira 9.
  5. Abasambi babiri abasobodde okuteebera Man City ggoolo mu mipiira 10 egy’omuddiring’anwa,Billy McAdams (mu 1957) ne Erling Haaland (mu 2022).
  6. Peneti 19 Ivan Toney z’afunye ku Brentford ,zonna aziteebye.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *