Nakalema alwana kudda ku ttiimu y’eggwanga.
![](https://endibbasports.com/wp-content/uploads/2022/08/cuf.jpg)
Liigi y’eggwanga ey’ebikonde eya UBF Boxing Champions League yazzeemu okutojjera n’ennwaana ez’enjawulo e zaabaddeko n’obugombe.
Mu nnwaana ezazannyiddwa, Emily Nakalema yamezze Scovia Muzira mu buzito bwa ‘welter’ ku bubonero4-1.
Luno lulwana lwa Nakalema lwakusatu ng’awangulamu liigi era wano w’asinziridde okuwera bwakomyewo okulwanira ennamba ye ku tiimu y’eggwanga.’The Bombers’
Nakalema yali ku tiimu eyeetaba mu mizannyo gya Olympics e Japan e Senegal mu 2020.
Okuva olwo abadde yaddirira ng’obuwanguzi bwe yafunye wiikendi ewedde bumuzzizza mu kibalo ku basuubirwa okuyitibwa ku y’eggwanga eyeetegekera empaka ez’enjawulo.