Amasaza Butambala, Buvuma ne Busiro gawereddwa obubonero ne ggolo.

0

Essaza Butambala, liwereddwa obubonero 3 ne ggolo 3, olwa Kooki okulemwa okugenda okuzanya omupiira gwabwe nga 27th Aug 2022.

Buvuma, ewereddwa obubonero 3 ne ggolo 3, olwa official wa Kyaddondo –  Muwanga Bernard okusiwuka empisa nayingira ekisaawe nalemesa omupiira okuddamu my ddakiika ye 87 oluvanyuma leave Buvuma okuteeba goolo.  Yakunga abawagizi back Kyaddondo ne balumba abakomonsi ba firimbi, ekyawaliriza Referee okuyumiriza omupiira. 

Official wa Kyaddondo on Bernard Muwanga, ayitiddwa okweyanjula eri akakiiko akakwasisa empisa n’amateeka mu mpaka z’omupiira gw’amasaza okwewozaako. 

Busiro, ewereddwa obubonero 3 ne ggolo 3 olwa Bugerere okusiwuka  empisa. Mungeri yeemu technical wa Bugerere  Nasser Ssemwanga ayitiddwa okweyanjula eri akakiiko akakwasisa amateeka n’empisa olwokukunga abawagizi ba Bugerere nebakuba abakomoonsi ba firimbi. 

Olukiiko lusazeewo ttiimu ya Bugerere, yakuzanyira omupiira gwayo oguddako nga etunka ne Kyaggwe ku neutral ground e Kasana Bulemeezi

Olukiiko luno, lukubiriziddwa Ssentebe walwo Sulaiman Sejjengo nalabula team zonna okukuuma empisa n’okussa munkola amateeka agafuga empaka.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *