Yusuf Babu ayingidde ebikonde bya pulofesono.

0

Eyali kapiteeni wa ttiimu y’eggwanga ey’ebikonde ‘The bombers’ Yusuf Babu ayingidde ebikonde bya pulofesono.

Babu y’omu ku bakubi b’ebikonde abalungi mu Uganda olw’enwaana ze ezaabanga eza vvaawompitewo era ezi singa n’aziwaguka na tonziriranga.

Akakasiddwa kkampuni ya 12 sports Rounds Boxing Promotions eya Stephen Sembuya omuzannyira Shadir Musa ne David Ssemujju abaakiikirira Uganda mu mizannyo gya Olympics e Japan. Baamuwadde endagaano ya myaka 2.

Babu akulidde mu COBAP Boxing Club ng’akiikiriddeko Uganda mu mpaka ez’enjawulo okuli eza Africa Boxing Championships mu 2017 e Brazaville mu Congo gye yamalira ku ‘quarter’.

Mu 2016 ne 2017 yawangulira Uganda zaabu mu mpaka za  Bingwa wa Mabingwa e Tanzania mu buzito bwa ‘Heavy’ era aweze nga bwagenda okuwumuzza buli ali mu buzito buno.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *