Amir Kakomo abadde owa SC Villa alangiridde ng’abwayabulidde ttiimu eno.

Kakomo y’omu ku abadde empagiruwagga mu ttiimu eno gy’amaze emyaka 4. Yagyegattako mu 2018 wansi w’omutendesi Moses Basena ku mulembe gw’eyali pulezidenti Ben Emmanuel Misagga, yava mu KCCA FC.

Kakomo tajja kwerabirwa bawagizi ba ttiimu eno mu sizoni ya 2020/2021 bwe yayolesa omutindo ogw’enjawulo ne Emmanuel Wasswa ne bayamba Villa okumalira mu kyokusatu wansi w’omutendesi Edward Kaziba .Ono asuubirwa okwegatta ku Gadaffi FC.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *