Bashir Sekagya yeegasse ku Wakiso Gaints .

0

Bashir Sekagya.

Eyaliko ssita wa Police KCCA ne Vipers, Bashir Sekagya ebitala bimutadde Wakiso Gaints bwe mu kakasiza okuva mu Wazito FC e Kenya.

Ono yatadde omukono ku ndagaano ya myaka 2. Mu Wazito FC, endagaano ye yaggwaako omwezi oguwedde.

Ng’assa omukono ku ndagaano, Sekagya yagambye nti agenda kukozesa obumanyirivu bw’alina ayambe ttiimu eno okuvuganya ku kikopo kya sizoni etandika omwezi ogujja.

Wakiso Giants y’emu ku ttiimu esinga bamusaayi muto era nnina omukisa okutumbula ekitone kyange saako n’okuyamba ttiimu okuwangula ebikopo.’’ Sekagya bweyategeezezza.’’

Ono ye muzannyi asoose okugulibwa wansi w’omutendesi John Luyinda era asuubirwa okubeera nnamba emu oluvannyuma lwa Derick Emukule okwabulira ttiimu eno sizoni ewedde.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *