Katikkiro asabye bannabitone okweyisa obulungi.

0

Owek.Charles asabye bannabitone naddala abazannyi b’omupiira okutwala eky’okulabirako kya Emmanuel Okwi nga beeyisa bulungi bwebaba baagala okulaakulanya ebitone byabwe.

Bino Katikkiro Mayiga abyogeredde mu nsisinkano gyabaddemu ne Emmanuel Okwi e Bulange Mmengo ku Lwokuna nebateesa ku nsonga z’omupiira.

Owek. Mayiga agamba nti singa abazannyi balabira ku Okwi nebafuna byebamukopako bajja kwanguyirwa okwerula emikisa gyabwe.

Ye Okwi agambye nti yeenyumirizza nnyo mu mpaka z’Amasaza kuba gye yatandikira olugendo lwe olumutuusizza wano waali.

Ono asabye abantu wonna mu ggwanga okuwagira enteekateeka y’omupiira gw’Amasaza awamu n’enteekateeka endala eza Buganda kuba ziganyula abantu bonna awatali kusosolamu.

Emma Okwi y’omu ku bazannyi b’omupiira abaagunjulwa empaka z’Amasaza, era yali muzannyi wa Mawokota.

Okwi ajjukirwa okubeera mu ttiimu ya Mawokota eyasamba fayinolo kweyakubira Gomba ggoolo 2:0  okusobola okusitukira mu kikopo ky’omwaka gwa 2007.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *