Andreas Perreira okugiwonya ekyambe sizoni eno.

Kiraabu ya Fulhan eguze omubrazil Andreas Pereira okuva mu Manchester United ku bukadde bwa pawundi 10 ku ndagaano ya myaka ena (4) ng’azannyira Kiraabu eno eyaakadda mu Premier League.

Fulham esoose kusasula obukadde bwa pawundi 8 ng’oluvannyuma yaakwongerayo obulala 2 okusinziira bw’anaaba akoze nga balina n’akawaayiro akamwongerayo omwaka mulamba.

Pereira ,26 yava mu ttiimu ento eya Man U ng’ava mu PSV mu 2011.

Azannyidde Man U emipiira 75 n’oteeba nnya (4) ng’azannyiddeko ku bwazike mu kiraabu ez’enjawulo omuli,Granada,Valencia,Lazio ne Flamengo.

Njagala okuyamba Fulham mu ngeri yonna gye nsobola okulaba ng’ekola bulungi, era ndi musanyufunnyo okwegatta ku kiraabu eno ey’ebyafaayo Pereira bwe yayogedde nga yaakanjulwa ng’omuzannyi omupya.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *