Dr.Patrice Motspe  pulezidenti wa CAF waakukyalako mu Uganda .

0

Dr. Motsepe waakutuuka mu Uganda ku Lwokuna nga july 14 addeyo ku Lwomukaaga.Olukung’aana luno lugendereddwaamu okutumbula n’okukulaakulanya omupiira gwa  Uganda.

Pulezidenti w’ekibiina ekitwa omupiira mu Afrika ekya CAF, Dr.Patrice Motspe waakukyalako mu Uganda ku bugenyi bwa nnaku 2 oluvannyuma lw’okuyitibwa Pulezidenti wa FUFA era mmemba w’olukiiko lwa CAF,Moses Hassim Magogo.

Dr. Motsepe waakutuuka mu Uganda ku lwokuna nga July 14 addeyo ku Lwomukaaga nga July 16 2022.Ku bugenyi buno, pulezidenti wa CAF waakusisinkana pulezidenti Museveni, Sipiika wa palamenti,Anita Annet Among, lukiiko olukulembera FUFA n’ebikonge ebirala ebikwatibwako omuzannyo gw’omupiira.

FUFA etegeezezza nti wajja kubaawo olunkungana lwa bannamawulire pulezidenti wa CAF mw’anaayogerera nga tannafuluma Uganda.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *