Bulemeezi eronze ttiimu egenda okukkika mu z’amasaza.

0

Omwami wa Ssaabasajja Kabaka atwala essaza lwa Bulemeezi Kangaawo Ronald Mulondo atongozza abazannyi 27 abagenda okuzanyira essaza lino mu mpaka z’amassaza nakunga abawagizi okweyiwa obungi mu bisaawe babakubire enduulu basobole okuwangula ekikopo ky’omwaka guno.

Abazannyi yabasabye okusamba omupiira okufiirawo naddala nga baggulawo  n’okukyalira Busujju kuba babeera beetunda n’okulaakulanya ebitone byabwe.

Kangaawo era yayanjudde omutendesi omugya ,Ronald Ssali abadde atendeka Busiro n’omumyukawe Yusufu Kinene nasuubiza okubawagira n’abasaba  base ebirungo mubazannyi  baveeyo n’obuwanguzi bawe Abalyannaka essanyu.

Ssentebe wa ttiimu ya Bulemeezi, Tadeo Wasswa Ziritwawula yagambye nti kumulundi guno abazannyi abasinga baana nzaalwa ya Buleemezi abaggyiddwa mu mpaka za Kangaawo cup.

Yasiimye aba Kkampuni ya Good will,Tabula property services  n’abalala abayambyeko essaza lino.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *