Gerald Katamba yategeezezza nti kuluno ebbula lw’ebisaawe balinogede eddagala.

0

Emipiira gy’Ebika bya’Abaganda giddamu okutojjera ku Lwokusatu nga 6 ku bisaawe eby’ejawulo oluvannyuma lw’oluzannya olusooka olusunsula ttiimu ezeegatta ku luzannya lwa 32 okuwunzikibwa.

Bino byogeddwa Genrald Katamba omuwandiisi w’empaka zino bwe baabadde bakwata obululu bw’oluzannya oluddako ku Bulange e Mengo.Omukolo gwetabiddwako abakungu b’Ebika eby’enjawulo okumanya ttiimu zaabwe be zigenda okuttunka nazo.

Katamba yategeezezza nti, oluzannya olusooka lwawedde naye nga tubadde tutaataaganyizibwa ebbula yy’ebisaawe ekibadde kireetawo enkyukakyuka kino tetugenda kukikkiriza mu luzannya oludaako.

Emipira gino gigenda kuzannyibwa ku bisaawe bisatu okuli; ekya Kawanda ss, ekya Kabaka Kyabaggu mu Wakiso ne Wankulukuku era ttiimu zonna zaategedde we zigenda okusisinkana okutuusiza ddala ku fayinolo.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *