Dean Henderson avudde mu Man U neyeegatta ku Nottingham Forest ku bbanja.

0

Goolo Kkipa wa Man U  omungereza  Dean Herderson yeegasse ku Nottingham Forest ku  bbanja okumala sizoni nnamba nga Forest yey’ok usasulanga  omusaala gwe gwa mitwalo gya pawundi 110,000 ogwa buli wiiki.

Forest  teweeredwa  kawaayiro akagula Henderson 25 era tajakukkirizibwa kuzanya nga ttiimu wa’alaze ezannya ne Man U mu Premier League. Kinajjukirwa nti n’omuwuwuttanyi wa Man U, James Garner sizoni ewedde yonna agimaze mu kiraabu eno nagiyambako n’okujja mu Premier.

Man U erangiride mu butongole nti Henderson agenze, ng’ono yazannya emipiira essatu  gyoka sizoni ewedde ng’ali wansi wa Ole Gunnar Solskjaer ne Ralf Rangnick.

Ndi musanyufu okwegatta ku Nottingham Forest ku bbanja era nneesunga nnyo okubazannyira Henderson bw’awandiise kumukutu gwe ogwa Twitter.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *