Gareth Bale yayabulidde Real Madrid ne yeegatta ku Los Angeles FC eya Amerika.

0

Kapiteeni  wa Wales, Gareth Bale yakkirizza okweggatta ku kiraabu y’e Amerika eya Los Angeles FC ku bwereere.

Bale, 32, tabadde na ndagaano na kiraabu yonna oluvannyuma lw’okuva mu Real Madrid ey’e Spain mw’amaze emyaka 9.

Ono abadde asuubirwa okudda mu Tottenham Hotspur gye yava oba okwegatta ku kiraabu ya Cardiff.

Newankubadde LAFC tennakakasa kino mu butongole, Bale  yakikakasizza bwe yawandiise ku mukutu gwe ogwa Twitter ku Lwomukaaga nti: “Aba Los Angeles, nzija eyo akadde konna”.

Bale mu Madrid awanguliddeyo ebikopo bya Champions League 5 okuva lwe yagyegattako mu 2013 nga mu kiseera kye kimu n’omuzibizi Omuyitale, Giorgio Chiellini yeegasse ku kiraabu y’emu ku ntandikwa y’omwezi gubo.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *