Abaddusi  beebugira misinde gya Mt Rwenzori Tusker Lite Marathon.

0

Kabushenga ku ddyo ne Amos Wekesa ku kkono omu ku bali ku kakiiko akategesi wagulu ku ntiko ya Mt Rwenzori mu kutongoza kw'emisinde gino.Ekif-FRED KISEKKA

Abaddusi  abasoba mu 3,000 okuva mu Uganda ne wabweru wayo beebugira misinde gya ‘Mt Rwenzori Tusker Lite Marathon’ egy’omwaka guno.

Emisinde gino gyakubaawo nga September 3 omwaka guno nga girubiridde okukulemberamu ebikujjuko by’olunaku lwa ‘Rwenzori Theluji Festival’ olw’ebyobuwangwa mu disitulikiti ya Kasese.

Gyatongozeddwa ku ‘Hotel Margherita’ esangibwa mu disitulikiti e Kasese.

Robert Kabushenga era nga y’omu ku bali ku kakiiko akategesi k’emisinde gino yakunze Bannayuganda okugijjumbira.

Gyakuddukibwa mu nkontana satu okuli egya kiromita 5, 21 ne 42 nga gyakusimbulwa ku ‘Kasese Marathon Grounds’.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *