Aba Gaddafi FC  baalangiridde  Wasswa Bbosa ku butendesi ne bakyussa n’erinnya.

0

Bbosa yazze n’abatendesi b’agenda okukola nabo okuli; George William Lutalo, Hassan Zungu, Ayub Balyejusa ne Sam Kawalya owa baggoolokippa.

Oluvannyuma  ly’emwezi 4 nga talina mulimu, omutendesi Wasswa Bbosa yatadde omukono ku ndagaano ya myaka 2 mu Gaddafi Modern.

Aba Gaddafi baalangiridde nga bwe bakyusizza erinnya lya ttiimu nga kati eyitibwa Gaddafi Mordern era mu kyukakyuka eno, n’omutendesi Wasswa Bbosa mwe yagidde.

“Abawagizi babeere bagumu, abatendesi bentambudde nabo balina obumanyirivu era ttiimu egenda kuvuganya ku kikopo,” Bbosa bwe yategeezezza.

Sizoni ewedde Gaddafi yamalidde mu kifo kya 8 n’obubonero 37.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *