Kalenda y’emipiira gya CAF yafulumiziddwa.

0

Vipers bannantameggwa ba Liigi

Vipers be bakyampiyoni ba liigi ya babinywera eya Startimes Uganda Premier League nga bagenda kuzannya CAF Champions League so nga BUL FC eyawangula Uganda Cup, yaakuzannya CAF Confederations Cup.

Vipers ne BUL FC abakiikiridde Uganda mu mpaka za CAF bakutandika kampeyini yaabwe mu August.

Bino byalangiriddwa akakiiko akaddukanya empaka zino aka CAF ku kalenda yaabwe eyafulumiziddwa .

Empaka zino zakutandika okutojjera nga August 12 era ebibinja byakutandika okuzannyibwa mu September bikomekkerezebwe nga November 18 okusobozesa abazannyi okwetegekera World Cup agenda okubeera mu Qatar 2022.

Omutendera gw’okusirisizaawo gujja kutandikirawo nga February 2023 oluvannyuma lw’empaka za African Nations Championships (CHAN) ezigenda okubeera mu Algeria.

Sizoni ewedde, Express eyawangula liigi, yawandulwamu Al Merriekh ey’e Sudan so nga URA bawandulwamu Al Masry ey’e Misiri mu luzannya olwokubiri.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *