Mu mpaka z’okuwuga eza Fina World Swimming Championships, Uganda yakikiriddwa abawuzi 5 okuli; Kirabo Namutebi, Tendo Mukalazi, Adnan Kabuye, Avice Meya ne Karimah Katemba .

Tendo Mukalazi

Musaayimuto omuwuzi Tendo Mukalazi yataddewo likodi y’eggwanga empya mu mutendera gwa mmita 50 Breaststroke mu mpaka eza FINA World Swimming Championships eziyindira mu Budapest ekya Hungary.

Mukalazi okutuuka okutekawo likodi y’eggwanga, yaziwugidde 00:00:30.03. Bannayuganda bazeemu mu nsiike leero nga Avice Meya owa 50 Breaststroke attunka mu mutendera gw’abakazi ku ssaawa 4:00 ez’okumakya.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *