Nalinnya Lwantale Girls S.S bazzeemu okuwangula empaka ez’emisinde e Luweero.

0

Enduulu ez’oluleekereeke zaasaanikidde ekisaawe kya Ndejje SS e Bulemezi  nga bannantameggwa b’émisinde aba Nalinnya Lwantale Girls S.S bwe boolesa omutindo ogwa waggulu mu mpaka z’amasomero ga ssiniya mu Luweero distulukiti.

Empaka zino zaategekeddwa okulonda ttiimu egenda okukiikirira distulikiti ya Luweero mu mpaka zámasomero ez’eggwanga ezinaabeerawo omwezi gwa August 2022 e Lira.

Oluvannyuma lw’okukomekkereza empaka zino ku kisaawe ku Lwokutaano, Nnalinnya Lwantale yataddewo likoda ey’okuwangula ebikopo kkumi mu myaka kkumi egy’omudiring’anwa. Yasooka kuwangula ekikopo kino mu mwaka 2012.

Nnalinnya yeefuze emisinde gyonna egy’omu kisaawe omuli embiro ennyimpi wamu n’empanvu  era abaddusi baayo ab’amannya omuli; Kobusinge Salaama, Bala Annaucieta, Kusuro Mercyline, Sarah Aluku, Namubiru Grace ne Nakato Janel be baabadde emmunyeenye z’olunaku mu mpaka ez’amasomero.

Bannantameggwa b’emisinde mu Luweero baakungaanyizza obubonero 176 mu mpaka z’abawala bokka ne baddirirwa Ndejje SS ku 56, Kasaala SS ku 49 ne Bombo Army SS ku bubonero 32

Ndejje SS yatutte ekikopo eky’awamu (nga ogasse abawala n’abalenzi) n’obubonero 182, Nalinya Lwantale eyabadde ne ttiimu ey’abawala bokka n’ekwata kyakubiri n’obunonero 176 ate Bombo Army mu ky’okusatu 164.

Ttiimu z’amasomero 20 ze zaavuganyizza mu mpaka zino.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *