Robert Page eyatutte Wales mu World Cup yeegayirira ndagaano mpya.

0

Ryan Giggs eyali atendeka Wales yandikomawo n’akwata mu ttiimu eno singa kkooti enemwejjeereza ogw’okutulugunya mukyalawe.

Omutendesi  wa Wales ow’ekiseera, Robert Page eyabatutte mu World Cup ali mu kusoberwa olw’obutamanya bakama be kye bamulowooleza ku by’omulimu guno.

Page ow’emyaka 47, abadde akola nga omutendesi ow’ekiseera nga yasikira Ryan Giggs eyafuna obuzibu n’amaka ge n’addako ebbali.

Ekitadde Page mu buzibu kya kuba nti endagaano ye yaweddeko ne kampeyini y’okugenda mu World Cup era bakama be tebalina kye banyega ku by’okumukakasa nga omutendesi ow’enkalakkalira oba okumugamba agende.

Kigambibwa nti Page yandibadde agobwa singa Ukraine yakubye Wales kyokka bwe baawangudde omupiira guno, tewali mukulu avaamu kigambo.

Omutendesi y’omu ye yatuusa Wales ku luzannya lwa tiimu 16 mu Euro 2020 kyokka emikisa gye okulya omulimu guno ku ndagaano y’enkalakkalira mitono. Waliwo abagamba nti Wales erinda kkooti ky’eneesalawo ku musango gwa Giggs okutulugunya mukyala we nga singa anaaguwangula, gwe baagala akomewo ku mulimu guno atwale ttiimu mu World Cup.

Noel Mooney, omukungu mu kibiina ekitwala omupiira e Wales yagambye nti bakyalinda biva mu kkooti kuba Giggs akyalina endagaano nabo.

“Nayogerako ne (Ryan) Giggs nga twakajja n’andaga enteekateeka ze yalina naye tukyalinze tulabe kkooti bw’eneesala omusango gwe,” Moore bwe yagambye.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *