“Tuli beetegefu ekimala okulaba nga tuwandulamu Tanzania kuba ekigendererwa kyaffe kya kuwangula kikopo kino.”  Niyonkuru bwe yategeezezza.

Ku Lwokuna mu CECAFA

Tanzania – Burundi (10:00)

Omutendesi wa ttiimu y’eggwanga eya Burundi, Gustave Niyonkuru tatidde Tanzania oluvannyuma lw’akalulu ka CECAFA okumukwata.

Niyonkuru eyabadde ku kisaawe e Njeru nga Tanzania emegga Zanzibar ggoolo 12-0 yagambye nti mwetegefu okweng’anga baliraanwa be kubanga ttiimu ye nnene nnyo ku Tanzania. Ono agenda kukiika mu mpaka za AWCON ez’abawala ezigenda okubeera e Morocco omwezi ogujja.

“Tuli beetegefu ekimala okulaba nga tuwandulamu Tanzania kuba ekigendererwa kyaffe kya kuwangula kikopo kino.”  Niyonkuru bwe yategeezezza.

Robson Oscar Mirambo agamba nti omupiira guno tegugenda kubeera mwangu kuba Burundi ttiimu nnungi ate tugenda kugiwa ekitiibwa. “Twasubwa empaka za AWCON wabula twagala okukakasa Burundi nti tetusobola.”  Mirambo bwe yategeezezza.

Tanzania ye yakulembedde ekibinja B n’obubonero 9 ne ggoolo 15 ate Burundi yakutte kyakubiri n’obubonero 6 mu kibinja A.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *