Okuva mu World Cup ya 1958, Wales ebadde teddangamu kuzannya mu World Cup.

Essuubi lya Ukraine okwesogga World Cup y’omwaka guno e Qatar lyaweddewo bwe yakubiddwa Wales ggoolo 1-0 ku Ssande. Ukraine, yazze yeewulira amaanyi oluvannyuma lw’okuwandula Scotland wiiki ewedde kyokka ggoolo ya kyeteeba eya Andriy Yarmolenko n’ebakutula emitima.

Ukraine, eri mu lutalo ne Russia era bannansi baayo bangi bafudde n’abalala babundabunda olwa Russia okubalumba ng’ebavunaana okwegatta ku mukago gwa NATO. Bassita ba Ukraine okuli; Oleksandr Zinchenko baalwanye butaweera okufunira ttiimu yaabwe ggoolo ey’ekyenkanyi kyokka ne bigaana. Wales yasemba okuzannya mu World Cup mu 1958 era abawagizi baayo babadde n’ennyonta. Abawagizi ba Wales bagamba nti wiini eno ku Ukraine y’ekyasinze okubawa essanyu mu byafaayo kuba bangi ku bo babadde tebalabanga ku ttiimu yaabwe ng’ezannya mu World Cup.

“Kino tekikkirizika. Okuba nga tugenda kuzannya mu mpaka ennene nga World Cup. Buno bwe buwanguzi obukyasinze okuba obw’amaanyi mu byafaayo,” Aaron Ramsey, omuwuwuttanyi wa Wales bwe yagambye.

Oluvannyuma lw’omupiira, abawagizi baayiise mu kisaawe mu ssanyu nga bayozaayoza abazannyi baabwe olw’okubawa essanyu lino.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *