Mu mpaka za CECAFA aba South Sudan bawera.

0

Guno mulundi gwakubiri nga South Sudan yeetaba mu mpaka zino oluvannyuma lw’okuzannya empaka zaabwe ezaasooka mu 2019 e Tanzania.

Omutendesi wa ttiimu y’abakazi eya South Sudan (Bright Starlets), Shilene Booysen olwatuuse mu Uganda n’asekerera abo abagamba nti ttiimu ye ezze kuyisa bivvulu mu mpaka za CECAFA Women’s Championship ezigenda okuyindira e Njeru ku kisaawe kya FUFA Tecqnical Centre.

Booysen bino yabyogeredde ku kisaawe e Ntebe nga ttiimu ye ey’abazannyi 23 y’akatonnya okwetegekera empaka za CECAFA ezigenda okutandika ku Lwokusatu lwa wiiki eno.

Guno mulundi gwakubiri nga South Sudan yeetaba mu mpaka zino oluvannyuma lw’okuzannya empaka zaabwe ezaasooka mu 2019 e Tanzania.

“Guno mwaka mupya era ttiimu gye ndeese nnungi nnyo okusinga eyasemba okuzannya empaka zino mu 2019 kuba n’abazannyi balina ebirubirirwa byabwe mu mpaka zino.” Booysen bwe yategeezezza.

Yayongeddeko nti omwaka guno bakimye kikopo wabula sikuyisa bivvulu mu mpaka kuba ttiimu yeetegese bulungi.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *