Kafulu wa Uganda mu misinde Cheptegei yesunze misinde gya nsi yonna .

0

Joshua Cheptegei oluwangudde emisinde egyabadde mu Amerika, n’alangirira nga bw’atagenda kutuula okutuusa ng’aleese omudaali omulala mu gy’ensi yonna.

Cheptegei, kafulu wa Uganda mu misinde,  oluwangudde emisinde gya ‘Prefontaine Classics’ mu Amerika n’alangirira ng’essira bw’alizizza ku gy’ensi yonna egigenda okuyindira mu ggwanga lino (Amerika).

Ku Lwomukaaga (May 28), Cheptegei yawangudde mmita 5000 mu misinde egyabadde mu ssaza lya  Oregon mu Amerika, nga yagiddukidde eddakiika 12:57:99.

“Gino giwedde, kati ntunuulidde  ‘IAAF World Athletics Championships (egy’ensi yonna), era sigenda kuwummula okutuusa nga ndeese omudaali,” Cheptegei bwe yagambye.

Egy’ensi yonna gyakubeerayo wakati wa July 15 ne 24, mu ssaza ly’e Oregon mu Amerika, nga gyakwetabwaamu bakafulu b’ensi yonna. Cheptegei waakuvuganyiza mu mmita 5000 ne 10000. Mu gy’ensi yonna egisembye, egyaliwo mu 2019 mu kibuga Doha ekya Qatar, yawangulira Uganda emidaali gya zaabu ebiri,

Guno si gwe gusoose Cheptegei okwetaba mu misinde mu Oregon. Ogwasooka gwali mu 2014 ng’akyadduka egy’abato, bwe yawangula zaabu mu mmita 10,000.

Ogwokubiri gwabaddewo mu 2021, amangu ddala nga yaakava mu Olympics gye yawangula omudaali gwa zaabu ne feeza.  Yeetaba mu gya mmita 5000 mu gya Eugene Diamond League n’agyo n’agiwangula.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *