Emipiira gyongezeddwayo egy’Ebika bya Buganda.

0

Minisita w’Abavubuka, Emizannyo n’Okwewummuza mu Bwakabaka, Owek. Henry Sekabembe Kiberu,  atangaazizza ku nkyuukakyuuka mu nteekateeka ya Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, okuggulawo emipiira gy’Ebika ezibadde ez’okubaawo ng’ ennaku z’omwezi 28/ May e Kasana Luweeo mu Bulemeezi.

Okutangaaza kuno Ssekabembe akukoledde mu Bulange e Mmengo bw’abadde ayogerako eri bannamawulire ku nteekateeka zino, nalaga nti olunaku olulala lugenda kulangirirwa.

“Munajjukira nti ku Lwokuna lwa Sabiiti ewedde nategeeza Obuganda bwonna ng’empiira gy’ Ebika eby’omwaka guno bwegigenda okuggulawo nga 28/May/ 2022. Mbayise okutegeeza Obuganda nti waliwo enkyuukakyuka entonotono ku nsonga eno, Olunaku lukyuseemu katono era mu bwangu ddala tujja kuba tutegeeza Obuganda  olunaku olulala olunaaba lutuweereddwa okuggulawo emipiira gino,” Minisita Ssekabembe bw’alambuludde.

Okusinziira ku Minisita Ssekabembe, Katikkiro Mayiga ajja kutongoza empaka zino  nga 31/ May /2022 mu bimuli bya Bulange era Abataka ab’obusolya wamu n’abazzukulu  ne ttiimu zonna zisabiddwa okwetaba ku mukolo guno.

Owek. Ssekabembe agamba nti enteekateeka gyebalina kuluno nnungi era bakkiriza nga ettutumu n’ekitibwa, abantu okudda mu kisaawe n’ebbugumu ly’empiira gino ligenda kuddawo.

Asabye ttiimu zonna okusigala nga zeteekateeka okusobola okwolesa omutindo omulungi mu kikopo kino kyonna.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *