Abawagizi ba KCCA banyiivu ku byayogeddwa Mucureezi.

0

Roberto Oliviera n'ekikopo

Abawagizi  ba KCCA FC balidde obuwuka ku byayogeddwa eyali omuzannyi waabwe nga kati agucangira mu Vipers, Paul Mucureezi nti baafuukako ‘Ssaalongo’ (okuwangula ebikopo ebibiri mu sizoni) kyokka mw’eno banjala ngalo.

Mucureezi yakwatiddwa ku katambi ka vidiyo ng’ayogera n’abaamawulire nga Vipers yaakawangula liigi y’eggwanga mwe yalabulidde bazannyi banne okufuba bawangule Stanbic Uganda Cup bafuukeko ‘Ssaalongo’ kuba omukisa nga ogwo tegutera kulabika.

“Nsaba bazannyi bannange omukisa oguliwo tuleme kuguzannyiramu. Yukolerere ebikopo ebibiri kuba tekitera kulabika. Natwalako ebikopo ebibiri mu kiraabu emu kyokka sizoni eno terina ky’ewangudde. Kati tulwane tubiwangule kuba tomanya guyinza okuba gwe mukisa oguliwo ne gutadda,” Mucureezi eyawangula liigi ne Stanbic Uganda Cup mu KCCA mu 2016 bwe yayongeddeko.

Mucureezi.

Abawagizi ba KCCA FC nga basinziira ku mukutu gwabwe ogwa Whatsapp baayombye n’abamu ne beewera okutuusa ku Mucureezi obulabe nti yabavvodde n’okubalengezza. “Entamu gye wali ofumbyemu togiyita kitamutamu. Ako akavubuka tekalinnya e Lugogo kajja kukiraba,” omu bwe yawandiise.

Omulala yagasseeko nti, “Mucureezi talina kutugeza ku Vipers. KCCA esigala nnene kuba yaliwo kuva dda. Bw’ajjanga e Lugogo asooka kussangayo poliisi.”

Wabula waliwo abawagizi abaawagidde Mucureezi nti, “Amazima gabakaayira bukaayizi naye ky’ayogera kituufu. Tuwangudde ki?” Olwo omulala kwe kumuddamu nti, “Si buli mazima nti geetaaga kwogera. Okutuwaanira Vipers kuba kutulengezza naddala ng’akikola yalyako ku mmere yaffe ne tumuweerera nako.”

Bajjukizza Mucureezi nti, “Brian Majwega naye emirundi mingi avuddenga ku KCCA n’akomawo. Uganda nfunda nnyo mu mupiira ate naddala ttiimu ezisasula obulungi nga KCCA. Oyo Paul olumu ajja kukomawo naye katumulinde.”

Vipers yawangudde liigi ate ku fayinolo ya Stanbic Uganda Cup yaakuttunka ne BUL FC nga June 12 e Masindi. KCCA yakutte kyakubiri mu liigi nga Vipers yagisinze obubonero 18. Vipers era yakuba BUL (8-1) ku fayinolo ya Stanbic Uganda Cup sizoni ewedde.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *