Walukagga idi cup ekomekkerezeddwa namusaayi.

0

Abawagizi beesombodde mu bungi okuva mu bitundu by’e Kyengera ebyenjawulo okwerabira ku mpaka ezaakamalirizo ez’ekikopo kya mmeeya wa Walukagga ezaakomekkerezeddwa ku lunaku lwa Idd.

Omupiira guno ogwanyumidde ennyo abalabi gwabadde wakati wa Maya ne Nabbingo FC nga gwayindidde ku kisaawe kya Nsangi Play Ground era ng’edenge evvannyuma lwagenze okufuuwa nga tiimu ya Maya emezze Nabbingo ku ggoolo 2-1.

Abawanguzi baaweereddwa,ekikopo, sseddeme w’ente n’emidaali ate nga Nabbingo eyamalidde mu kyokubiri yafunye embuzi, emidaali n’omupiira .

Siraje Male ,omu ku bannabyamizannyo mu kitundu kino yategeezezza nti abaana bangi mu Kyengera abalina ebitone nti kyokka ng’ekizibu tebafunye kuyambibwa bw’atyo n’asiima Walukagga okutegeka empaka zino zeyagambye nti zayambyeko okuzuukusa ebitone by’abasambi.

Walukagga yategeezezza nti ekola y’okutegeka emipiira gino mu Kyengera waakugenda nayo mu maaso nti kuba ekigendererwa kye ayagala kutumbula byamizannyo mu kitundu kino bw’atyo n’asaba ne bannabyamizannyo okumukwasizaako ku mirimu guno.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *