DENIS ONYANGO AMENYE EBYAFAAYO MU LIIGI YA SOUTH AFRICA. YE MUSAMBI ASINGA EBIKOPO BYA LIIGI EBINGI.

0

By Jimmy Nteza

Wiiki ewedde, kirabbu ya Mamelodi Sundowns yawangudde ekikopo kyayo ekya 15 weyakoze amaliri ne Cape Town City era nga eno yekyasinze okutwala ebikopo ebingi mu liigi ya South Africa eya babinywera.  Mamelodi era yatutte ekikopo ekyokutaano ekyomuddiringanwa mu liigi.

Munnayuganda Denis Masinde Onyango nga ye mukwasi wa goolo ya Mamelodi Sundowns yataddewo ebyafaayo bweyawangudde ekikopo eky’omwenda era nga ono ye musambi kati akyasinze okutwala ebikopo bya liigi ya South Africa ebinji nga likodi eno abadde agyenkanya ne Hlompho Kekana naye eyali omusambi wa Mamelodi Sundowns wabula nga yayabulira ttiimu eno ku nkomerero ya sizoni ewedde. Bano bombi babadde ku bikopo munaana naye Onyango okutwala ekikopo ekirala kyamusukulumiza ku Kekana.

Kinajjukirwa nti Denis Onyango yatwala ebikopo bya liig bisatu nga ali ne Super Sport Unitedwakati wa 2006 ppaka 2010 ate nga bukyanga yegatta ku Mamelodi Sundowns mu mwaka gwa 2011, ono awangudde ebikopo ebirala mukaaga.

Sizoni eno, Onyango atawanyiziddwa nnyo obuvune obw’eviivi nga kino kimuleetedde okusubwa emipiira ejimu wadde nga asigala ye kipa wa ttiimu asooka nga omuZambia Kennedy Mwene yamusikira. Mamelodi Sundowns yava mu kikopo kya babinywera ekya Afirika bweyajibwamu Petros de Lounda eya Angola nga kati amakanda egasigaza ku kikopo ekyawaka ekya MTN 8 nga mukino bali kulunzanya oluddirira olwa kamalirizo.

Mamelodi Sundowns yakukwasibwa ekikopo nga 21 omwezi guno, bwenaaba esamba Royal AM mu kibuga Durban.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *