TODD BOEHLY YASINGA EMIKISA EJIGULA CHELSEA. EBIBINJA BISATU BYEBISIGADDE MU LWOKAANO

0

Nagagga omumerika Todd Boehly n’ekibinja kye bakulembeddemu abaagala okugula ttiimu ya Chelsea era nga bisigadde ebibinja bisatu ebiri mu lwokaano. Chelsea etundibwa gavumenti ya Bungereza oluvannyuma lw’okuteeka envumbo ku nannyini yo Roman Abramovich ku lwensonga eyeekuusa ku mukwano gwalina ne Pulezidenti wa Russia Vladimir Putin ate nga ono yatandikawo olutalo ku ggwanga lya Ukraine. Chelsea etundibwa obuwumbi obusukka mu busatu era nga ebibinja n’abantu ssekinomu beesowoddengayo okulaga nga weebagala okugula Chelsea naye nga kati ebibinja bisatu byebisigaddewo.

Kisuubirwa mu mwezi guno gavumenti ya Bungereza yakulangirira nannyini Chelsea omujja era nga olwokaano lusigaddemu ebibinja bisatu nga bikulembeddwa nagagga omumerika Todd Boehly nga ali mu kibinja ekirimu nagagga okuva e Switzerland gwebayita Hansjorg Wyss. Bano baakufuna okuvuganya okuva eri ekibinja ekikulemberwa nagagga Sir Martin Broughton wamu n’ekibinja ekikulemberwa nagagga owa ttiimu eye nsero eya Bolton Celtics gwebayita Steve Pagliuca.

Kisuubirwa nti ekibinja kya Boehly kyekisinga sente ez’obuliwo wadde nga nabagagga abalala nebanatta nsonga eno. Singa bino binaggwa, Roman Abramovich yasaba aweebwe obukadde bwa pawundi onulala bitaano asobola okuziwa ebitongole ebiyambi ku nsimbi ezinasasulwa era nga ezimu zaakusasula mabanja ttiimu gerina.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *