Abazannyira mu ttiimu za supa liigi basitukira mu kikopo ne sseddume w’ente ku fayinolo za Eid Cup oluvanyuma lw’okuwangula.

0

Abazannyi ba ttiimu za supa liigi y’eggwanga beerisizza nkuuli ku fayinolo za Eid Cup eyabadde ku kisaawe kya Kibuli Teacher’s training college e Kibuli.

Gaddafi FC 3-2 Best of the Best FC

Ku fayinolo eno, Gaddafi eyatuuka ku zaakamaliri yabaddemu Steven Mukwala (URA FC), Erisa Ssekisambu (KCCA FC) ne Baker Lukooya eyaliko mu Express FC n’omuyimbi gwe bamannyi nga Rickman Manrick.

Wabula eyaliko omuzannyi wa KCCA FC ne CF Montreal ey’e Canada, Mustafa Kizza baamugaanye okuzannya olwa kaadi emmyuufu gye yafuna ku ‘semi’.

Bano baakubye Best of the Best FC ggoolo 3-2 era ne basitukira mu kikopo ne sseddume w’ente.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *