Shakira Nassaka yawangudde  banne babiri  mu muzannyo gw’okubaka ogw’a sizoni 2021/2022 eyaakakomekkerezebwa.

0
 

Shakira Nassaka omuzibizi wa Makindye Weyonje mu liigi enkulu ey’okubaka mu ggwanga amezze banne babiri ku kirabo ky’omuzannyi wa sizoni 2021/2022 eyaakakomekkerezebwa.

Ono yabadde avuganya ne muzannyi munne Asinah Kabendera bwe bali mu Makindye Weyonje kw’ossa Margaret Baagala owa National Insurance Corporation (NIC) abaawangudde ekikopo kya sizoni ewedde.

Ku mukolo gw’okusiima n’okugabira ebirabo eri bannamuzannyo gw’okubaka abaasukkulumye ku bannaabwe mu sizoni ya 2021 ogwabadde ku Imperial Royale Hotel e Nakasero, Nassaka yanywedde mu banne akalulu n’addirirwa Kabendera ne Baagala.

“Obuwanguzi buno buvudde mu kukolera awamu ne ttiimu yange, mbuwaayo eri mmange, abawagizi, bazannyi bannange, abakulembeze b’omuzannyo mu ggwanga, weebale nnyo Mukama ku lw’obuwanguzi buno,” Nassaka bwe yasanyuse.

Nassaka yaweereddwa ttiketi y’ennyonyi okuva mu Uganda Airlines emutwala e Mombasa okuwummulamu okumala ennaku ssatu, Nanjing Hotel yamuwadde olunaku lumu ng’awummuddemu nabo, yaweereddwa akakadde ka Uganda kamu okuva eri Suzan Makula Bugingo, ekikopo, Satifikeeti n’ebirala bingi.

Shakira Nassaka ng’awanise ebirabo bye yawangudde

Abalala abaawangudde

Bashir Matovu (owa SMASH) ye yabadde omuzannyi wa liigi y’abasajja eyasinze, Asinah Kabendela (Weyonje) ye yasinze abateebi, Vincent Kiwanuka (owa NIC ne Kampala University), Sandrah Nambirige ne Shadia Nassanga Ssegujja (aba KCCA) be bazannyi abato, Peace Proscovia (owa Surrey Storm e Bungereza) y’asinze okutunda omuzannyo mu bazungu, Jackson Kayiira( ye mukozi w’ekibiina ky’okubaka eyasinze), Rebecca Kavulu (eyaliko pulezidenti w’omuzannyo) ye yatutte ekya munnabyamizannyo awangadde ng’aweereza ekibiina.

Ttiimu ezaasimiddwa

National Insurance Corporation (NIC) be bakyampiyoni ba liigi enkulu ey’abakazi nga guno mulundi gwa 21, Kampala University eky’abasajja, Greater Busia Netball Club (ye y’ekibinja ekyokubiri), Airforce Netball Club (yatutte eky’empisa).

Abazannyi 7 abaakoze ttiimu ya sizoni mu liigi enkulu (abakazi)

G/A-Stella Oyella (NIC), Center -Margret Bagala (NIC), G/S-Asinah Kabendela (Weyonje), W/A-Norah Lunkuse (KCCA), G/D-Shakira Nasaka (Weyonje), G/K-Shaffie Nalwanja (KCCA) ne W/D-Viola Asingo (Prisons).

Abazannyi 7 abaakoze ttiimu ya sizoni mu liigi enkulu (abasajja)

Mishali Ssebuliba (International), Richard Eppa (K.U), Bashir Matovu (SMASH), John Kizito (K.U), Disan Wasswa (WOB), Bosco Yiga (Blue Stars Magpies) ne Moses Mugisha (Prisons).

Abagenyi abakulu

Donald Rukare (Pulezidenti wa UOC, William Blick (mmemba wa IOC), Robert Jjagwe (Pulezidenti wa Uganda Table Tennis Association), Moses Muhangi (Pulezidenti wa Uganda Boxing Federation), Hon. Sarah Najjuma (MP, Nakaseke). George Ssemwogerere ne Yusuf Kinne (abaaliko abazannyi ba Cranes), Ben Misagga (Ssentebe wa SC Villa).

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *