Mu z’obuvanjuba bwa Afrika NIC etandise na buwanguzi.

0

NIC kaweefube gw’eriko okweddiza ekikopo kya kiraabu z’amawanga g’obuvanjuba bwa Africa ezitandise na maanyi bw’emezze KVZ eya Zanzibar ku ggoolo 75 ku 30.

Ompiira wakati wa ba kyampiyoni ba 2019 aba NIC ne KVZ eya Zanzibar  gwe gugguddewo empaka.

NIC eyingidde omupiira guno ng’eyagala buwanguzi obuggulawo empaka okusobola okutangaaza emikisa gyayo egitwala ekikopo era ekitundu ekisooka kiwumudde NIC ekulembedde ku ggoolo 38 :15. Omupiira gugenze okuggwa nga NIC ebala ggoolo 75 ate KVZ 30 .

Kaputeeni wa NIC, Joan Nampungu ategeezezza nti beetegefu okwang’anga buli kiraabu yonna enaayimirira mu kkubo lyabwe.

“Tetulina kiraabu yonna gye tutya. Mmanyi nga twetegese ekimala era singa tuba tuzanyidde wamu nga ttiimu nkimanyi ekikopo kyaffe n’omwaka guno,” Nampungu bwe yatangaazizza.

Amawanga asatu (3) ge geetabye mu mpaka zino okuli; Tanzania, Zanzibar ne Uganda nga Kenya tebaazetabyemu lwa butaba na ssente.

Empaka zaakukomekerezebwa nga 15 omwezi guno.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *