Ekibiina ekidukanya omuzannyo gw’okubaka kitaddewo obukwakkulizo obupya eri kiraabu

0

Ekibiina ekifuga okubaka mu ggwanga ekya Uganda Netball Federation nga omu ku kaweefube w’okutunda omuzannyo gw’okubaka mu bantu wamu n’okuyingiza ensimbi, abakulu balagidde kiraabu ezizannya mu liigi buli emu okufuna abawagizi 50 n’okwambuka waggulu.

GOTV AWARD

Ekigendererwa kwe kulaba nga buli kiraabu ezannya mu liigi esasula obukadde butaano okwewandiisa singa buli muwagizi aba asobodde okusasula emitwalo 10.

Mu kadde kano, buli kiraabu ebadde esasula emitwalo 40 nga bw’obala kiraabu 10 ezizannyira mu liigi kitegeeza nti kiraabu zonna zisasula obukadde 4 buli mwaka mu kibiina ky’okubaka, ekiviirako okugaba ekikopo kyokka ku nkomerero ya liigi.

Aabakulembeze UNF

Singa buli kiraabu eba esasudde obukadde butaaano kitegeeza nti ekibiina ky’okubaka kiba kifuna obukadde 50 buli mwaka okuva mu kiraabu 10.

Bino we bijjidde nga abawanguzi aba NIC basuubirwa okutikkirwa nga 26 omwezi guno  wadde ng’ensimbi ez’okubaweebwa omwaka guno tezinnategeerekeka.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *