ABASAMBI 7 ABAALEMWA OMUPIIRA MU LIIGI YA BUNGEREZA, ABAKULEMBEDDEMU VILLAREAL OKUJJITUUSA KU NZANNYA EZ’AKAMALIRIZO EZA CHAMPIONS LIIGI.

0

VILLAREAL, SPAIN - SEPTEMBER 13: Head coach Unai Emery of Villarreal CF gives instructions to his players during a cooling break during the La Liga match between Villarreal CF and SD Huesca at Estadio de la Ceramica on September 13, 2020 in Villareal, Spain. (Photo by Alex Caparros/Getty Images)

Bya Jimmy Nteza.

26/04/2022            Man City Vs Real Madrid

27/04/2022            Liverpool Vs Villareal

Kyewunyisiza bangi nga kirabbu ya Villareal esambira mu liigi ya Spain ewandulamu Bayern Munich eya Germany abangi gyebabadde balinamu essuubi eritwala ekikopo. Kati ku ttiimu ezinavuganya ku luzannya oluddirira olwakamalirizo, Villareal ye ttiimu erowoozebwa nga entono era etalina byafaayo mu kikopo kino nga yasinga kumanyira kya Europa kyeyasembayo okutwala nga ekuba Manchester United eya Bungereza sizoni ewedde. Villareal lweyasembayo okukola bulungi mu mpaka za Champion, era yatuuka ku luzannya oluddirira olwakamalirizo nga yajjibwamu Arsenal mu 2005/06. Ssekanorya ekusunsulidde abasambi 7 abayambye Villareal okutuuka wetuuse naye nga baaliko mu liigi ye Bungereza era omupiira negubalema.

Etienne Capoue: Ono yasambira Tottenham emipiira ejisoba mu 180 nga kwogasse ne Watford. Tottenham yamugula mu Toulouse naye talina mukululo gwonna gweyajirekera. Kati ku myaka 33, ali mu Villareal era nga musaale ku ngeri gyekolamu.

Juan Foyth: Ono naye yasambiranga Tottenham eya Bungereza nga bamugula mu Estudiantes eya Argentina. Ku myaka 24, asamba ka nnamba bbiri era nga teri amuwunyamu yadde.

Vicent Iborra: Ono yasambirako ku Leicester City naye batono nnyo abamutegeera olwensonga nti omupiira ggwagaana. Leicester yamujja mu Sevilla era najisambira emipiira 37, nateeba goolo 2. Yegatta ku Villareal mu 2019 era nga y’omu ku bawuwuutanyi.

Alberto Moreno: Ono yasambiranga Liverpool nga yamugula mu Sevilla. Era yamala ebbanga nga yakuba ka nnamba ssatu ppaka Andrwe Robertson weyajja olwo neyegatta ku Villareal. Lwakufunannyo bvune, naye Moreno asigala ye ssatu wa Villareal.

Francis Coquelin: Yamala emyaka 10 nga asambira Arsenal, era yakuba emipiira ejisoba mu 160,. Wadde nga gwali guti, teyali musuutibwa ku Arsenal eyamutunda mu Valencia nalyoka yegatta ku Villareal era nga y’omu ku basamba mu Makati.

Arnaut Danjuma: Yayolesa omutindo ogw’ekiwogwe mu Bournemouth mu 2019, era yasamba emipiira 14, natateebayo goolo wadde emu. Yasinze okuyamba Villareal mu mpaka zonna nga wasamba ne Gerard Moreno, babeera bazibu nnyo.

Serge Aurier: Amaze ebbanga nga asambira Tottenham okuva mu 2017 nga asambye emipiira ejisoba mu 110. Ono yatebwa mwaka guwedde era neyegatta ku Villareal nga ayambako nnyo ku nnamba bbiri gyebasamba ne Juan Foyth.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *