EBIZIBU ARSENAL BYEYOLEKEDDE MU KULWANA OKUFUNA EKY’OKUNA, OBUVUNE BWAKUJIKOSA.

0

Olwokaano olw’ekifo ekyokuna Arsenal erulimu ne ttiimu nga Tottenham,  Westham, Man United ne Wolves nga bano bakola enjawulo ya bubonero butaano bwokka mu massekati gaabwe. Bangi olunwe babadde balusonze mu kirabbu ya Arsenal okumalira mu kifo eky’okuna era ekiike mu mpaka za Bulaaya ezababinywera naye ate kyandiba nga Arsenal eyolekedde olusozi gambalagala olw’ebizibu entakera byetandise okufuna ensanji zino.

Okukubwa Crystal Palace: Tekibadde kyabulijjo Arsenal okusuula emipiira ku ttiimu entono, nga eebadde esitudde omutindo ogukuba ttiimu entono, olwo nga esigazza kusuula ku nenne zokka. Gyebuvuddeko Arsenal yakubiddwa ggoolo 3 nga ekubwa Crystal Palace ekyajjizizaamu emabega nedda mu kifo eky’okutaano.

Arsenal taking over

Emipiira egyomujjirano: Arsenal erina emipiira egy’okumukumu  era nga kino kyakumenyanyo ttiimu. Arsenal esigazaayo emipiira 8 okumalako liigi naye nga gyamujjirano. Mu gino, esatu gyakusambibwa mwezi guno ate nga etaano gya mu mwezi gujja. Erina wegenda okusambira emipiira esatu mu bbanga lya nnaku munaana zkka ekiteeka abasambi ku bunkenke .

Amawolu amazibu: kinajjukirwa nti Arsenal ekyalina amawolu amazibu okuli omupiira gwa Chelsea n’ogwa Tottenham ejitasaambibwa. Amawolu gonna Arsenal galina ga ttiimu ate zaavuganya nazo nga bwanaba teyenywezeza, yandisuula obubonero.

Obuvune: Omusambi ow’enkizo Kieran Tierney yakulembera abasambi abali ku buvune nga ono wakumala kumpi sizoni yonna nga taliwo. Mu balala mwe muli Thomas Partey eyyalwadde mu gwa Crystal Palace nga asuubirwa kukomawo mwezi gujja, Takehiro Tomiyasu amaze ebbanga nga mulwadde wadde nga asuubira mu nnaku ntono nnyo wamu ne Nicolas Pepe abadde n’omusujja.

Emipiira Arsenal gyesigaza:

  • Vs Southampton
  • Vs Chelsea
  • Vs Man United
  • Vs Westham
  • Vs Leeds United
  • Vs Tottenham
  • Vs Newcastle
  • Vs Everton

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *