NAGOJJE

Nagojje 0-1 Magada

Fred Ssimbwa Kaggwa omubaka wa Nakifuma mu paliyamenti, yafuukudde ttiimu z’omupiira n’okubaka e Nagojje bwe yazitadeemu emijoozi n’emipiira bye yabasuubiza ng’empaka z’ekikopo kye zitandika mu muluka guno ku Easter Monday.

Ssimbwa (ku ddyo) ng’akwaasa kkaputeni w’abawala b’e Magada

“Temuffiira ku banamwe kubanga mwena ngenda kubawa emijoozi n’emipiira,” bwatyo Ssimbwa bwe yagambye.  Ku fayinolo y’omuluka guno, Magada yawangudde Nagojje ku ggoolo (1-0) eyateebeddwa omuvubuka eyakazibwako erya Bbooyi.  Ne mu kubaka Magada yawangudde Nagojje ku ggoolo (14-6).

Ttiimu zombi ezaatuuse ku fayinolo zafunye emijoozi n’emupiira okwetegekera omutendera ogudako ogw’eggombolola.  Ku ggombolola omuwanguzi wakunyuka n’emitwalo ataano ate owokubiri abiri m’etaano.  Omuwanguzi wa Nakifuma yonna wakutwala obukadde butaano at’e mu kubaka busatu.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *