EBIROWOOZO BYA BANNA-UGANDA KU MUPIIRA GWA KENYA NE MALI. UGANDA ENEYITAWO?

0

11/11/2021         Uganda V Kenya

14/11/2021         Mali V Uganda

Ttiimu ye ggwanga the Cranes wiiki eno yaakulya matereke ne ggwanga lya Kenya nga kwotadde erya Mali mu mipiira ejinasembayo ku luzannya lwebibinja mu kukiika mu kikopo ky’ensi yonna. Uganda eri mu kibinja ekya E nga yaakubiri wansi wa Mali akulembedde. Uganda yafunyemu okwegezaamu ne ttiimu eya Northern Select gyeyakubye goolo 3-1 ku Kitugm Boma Playground era nga omutendesi Micho mumatizu nti Uganda esobola okukulembera ekibinja kino. Abamu ku Bannayuganda abawagira omupiira, balowooza bwe batik u kuyitawo kwa ttiimu ye gggwanga.

Kakooza Kennth – Nyenje Seeta.

Uganda tegenda kuyitawo olwensonga nti omupiira gwa Mali muzibu, eyinza kuwangula Kenya.

Herbert Kateregga – Wantoni Mukono.

Kenya tujikuba naye Mali gajja kubeera maliri, tetujja kuyitawo.

Tandema Wilson –  Seeta.

Uganda eyitawo ejja kuwangula emipiira gyombi.

Nabifo Joy – Mukono.

Mali egenda kusekula Uganda naye yo Kenya tujja kujiwangula ggoolo 1. Tetujja kuyitawo.

Mugejja Tadeo – Kirowooza.

Tetuyitawo, engeri gyetuzimba, Mali ajja kukikulembera ate nze siwagira na Uganda kuyitawo kuba tujja kuswalira mu world cup.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *