SANCHO, LINGARD NE GREENWOOD BASUULIDDWA KU YE BUNGEREZA.

0

Omutendesi wa Bungereza Gareth Southgate yasudde abasambi ba Manchester United okuli Jesse Lingard, Jadon Sancho ne Mason Greenwood weyabadde ayita ttiimu egenda okusamba emipiira egyokukiika mu mpaka z’ensi yonna. Bano bakuzannya Albania ne San Marino. Wabula omutendesi yategeezeza nti Lingard ne Sancho tebafuna budde bumala kusamba mupiira ate Greenwood ye omutendesi agamba yayogedde naye ne famile ye era taneteekateeka kusambira ttiimu nkulu. Ku Callum Hudson Odoi ono yategeezeza nti ono wakuyitibwa ku u21. Kino kitegeeza nti Harry Maguire ne Luke Shaw bebasambi ba Man U bokka abayitiddwa. Mubalala abaasuliddwa mwe muli Kieran Trippier ne Ollie Watkins. Abayitiddwa kuliko

Sam Johnstone – Jordan Pickford – Aaron Ramsdale

Trent Alexander Anold – Ben Chilwell – Conor Coady – Recce James – Harry Maguire – Tyrone Mings – Luke Shaw – John Stones – Kyle Walker

Jude Bellingham – Jordan Henderson – Mason Mount – Kalvin Phillips – Declan Rice – James Ward Prowse

Tammy Abraham – Phil Foden – Jack Grealish – Harry Kane – Marcus Rashford – Bukayo Saka – Raheem Sterling.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *